Oluberyeberye nga ekiseera tekinnaba kutuuka ekyokwogera kusswala eyokubiri nagezaako okuzza endowooza oba okwejjukanyamu ebyabadde musswala eyasoose mubirowoozo mbeerenga negezesaamu obuwa nvu bwokutegeera kwange gyekukoma ate mbeere nga mbuuza kwebyo byessakwata oba byessategeera ebanga lyetumala nga tetunnasiibula okwogera kusswala.
Taata yali yakatuuka bwati nemmwanguwira nemmukuba ekibuuzo ekyantewanya nessisobola kukyanu kula, namugamba:
Abaffe kisoboka okusaala swala ya ISHA nga ya laaka bbiri?
- Nedda... sakugambye nti mazima yyo yalaakannya.
◘ Naye mazima nze omulundi gwali gumu nakulaba nga ogisaala mulaakabbiri.
- Twali mulugendo?
◘ Yye.
- Ekyo kituufu, esswala eyelaaka ennya (4)
“swalaat zzuhuri ne Asri ne ISHA”kikakata okuko ma kulaaka bbiri nga muli mulugendo, singa buba bujjudde obulombolombo obwokusala kusswala buno obujja:
1- omutu okugenderera olugendo oluweza amasaafa obuwanvu bwa “44KM” mukugerageranya oba nga lweyongera okuva mukifo wabeera sinsonga olugendo olwo lubeera mukugenda mwokka oba kugenda nakudda.
◘ Nnyanjuluzaamu okusingako awo neeyongere okumanya.
- omutambuze yenna bwatambula nagenda mukibuga ekyesambyeko okuva wabeera (44 KM) nokweyongerayo kimukakatako okukendeeza kumuwendo gwelaaka musswala ennya nasaala laakabbiri zokka.
Nabwekityo bwatambula nagenda mukibuga ekyesa mbyeko (zz km) okuva kukibugakye wasula nabeeranga amaliridde okukomawo eri ekifokye wabeera omulundi omulala mulunaku olwolwenyini.
◘ Mukifoki watandikira okupima obuwanvu bwolugendo?
-Atandikira okupima obuwanvu bwolugendo mukifo omuntu wabala nti wawanvu era nabalibwa nti atambudde lugendo eri-abantu bonna nayenga ebiseera ebisinga batandiikira kumayumba agasemba yo mukibuga gyekikoma eranga wawerawo obuwa nvu bwa (44 km).
2- kwekubeeranga omutambuze agendamumaaso nekigendererwakye singa endowoozaye ekyukamu najjirwa ekirowoozo ekirala awo kyakkola kujjuza swalaye okujjako nga abadde wakudda gyabeera mukitundukye olugendolye olwasose nga lulimu okudda okusinziira kubuwanvu bwolugendo awonno kimukakatako okusala kusswalaye.
3- Olugendolwe lulina okubanga lukkirizibwa muma teeka, singa olugendo lubeera lwaharamu nga ezimu kungendo zabakyala awatali kukkirizibwa nebabba we, oba nga agenderedde haram mulugendolwe nga agenderedde kubba mulugendolwe, awo aba alina okujjuza swalaye, nagenze okuyigga ajjuza swalaye.
4- Omutambuze alina obutayita mukitundu wabeera nayimirira mukyo oba mukifo wawangalira nabeerako awo nga ate akyatambula, era tanuwirira kumala nnakukkumi nokweyongerayo munsi oba ekibuga gyaba agenze, era alina okubanga tasigadde mubbanga nga tamanyi Ddi-lwatambula okuva mukitundu gyagenze okumala ennaku makumi asatu (30).
Kubanga mazimaye mukiseera ekyo asala kuswalaye muntandikwa yolugendolwe era natajjuza.
◘ Singa aba ayise mukitundukye oba mukifo wawanga lira nga ate akyatambula kyokka nawumuliramukyo oba nga abadde mumalirivu okubeera mukitundu gyagenze okumala ennaku kumi nokweyongerayo oba nga asigadde addingana tamamyi akomawoddi mulugendolwe okumala ennaku makumi asatu (30)?
- mukiseera ekyo ajjuza eswalaye, najjuza gyabadde addingana muyo olunaku olwamakumi asatu (30)
ebbanga lyamala nga akyali mukitundu ekyo.
5- Olugendo obutabeera nga gwemulimugwe nga bwayinza okufuna omulimo nayenga gwakutambula nga omuvuzi wemotoka oba omugobi weryato oba omulunzi oba olugendo okumuddingana kulwomuli mugwe oba kulwensonga endala.
◘ Kino kitegeeza : mazima omuvuzi wemotoka ajjuza swalaye wakati mulugendo?
- yye, oyo omulimugwe nga kuvuga motoka mungendo empanvu ajjuza swalaye mubiseera byokukola emirimojje.
◘ Ate omusuubuzi nomusomi nomukozi singa abeera mukibuga kyonna ate nga univasite oba ekitundukye oba senta yokusuubulakwe biri mukibuga oba mukyalo kirala ekyesambyeko kukifo mwabeera 22km nokusoba nga ate atambula buli lunaku oba ennakubbiri okutuuka?
- oyo ajjuza swalaye era tasalako.
6- okubeeranga tali mwaabo abatalina maka nga enjuuye agirina mungalo nga omulambuuzi atalina kitundu oba eyagaana ensiiye nga aliwo kuyingira mubuli nsi kyokka nga talinaamu-kifo.
◘ Ddi omutambuze lwatandika okusala kuswala?
- kikakata okusala kusswala nga amaze okukuba amabega kwebyo abantu bekibugakye weba komya amaaso gaabwe okulaba kulwesambalwe okuvakubo, akabonero kunsonga-eyo kwekubeera nti takyaddayo kulaba bantu baatuula nabo mu tawuni wabeera mukiseera ekyo wasalira kusswala.
◘ Wagamba: singa omutambuze ayita kukitundukye natuula mukyo aba-alina okujjuza swalaye, naye kiki kyogenderera mukitundukye?
- Ngenderera mukitundu eri:
a- Obutuuzebwe obwensibuko era nga yebeera abazaddebe nokuzalibwakwe bulijjo.
b- Ekifo omuntu kyeyafuula nga bwebutuuzebwe oba awokubeera yekennyini mubuwangazibwe bwonna.
c- Ekifo kyeyafuula nga bwebutuuzebwe ebbanga ggwanvu era bwakibeeramu tayitibwa mutambuze.
◘ Amakulu gegano.
1- Singa omutambuze aba-ayise kukitundukye natuulamu.
2- Singa agenderera okubeera mukifo kyonna ennaku kumi ezomuddiringanwa oba okusingawo eyo gyaba agenze.
3- Singa agenda mukitundu kyona nasigalamukyo ennaku (30) nga abuusabuusa tamanyi ddilwakomawo mukitundukye, mazima omutambuze ajjuza swalaye era tasalako?
- yye.
◘ Singa atambula natatuukibwako kintu kyonna mubintu ebyo ebisata ebyakulembedde?
-Asala kuswalaye. Buli mutambuze nga olugendo luweza (44) km nokusobamu okuva mutawuniye alina kusala kuswalaye, okujjako nga yewunzise ko mukitundukye oba namalima okumala ennaku kumi.... oba.
- Yye... yye.
◘ Singa ekiseera kyesswala kituuka nga ate mutambuze naye nga ebiseera byolugendo tebi nnaba kutuuka oba nga akomyewo munsi oba mukitundukye kati asaala atya mukitundukye?
- Ajjuza swalaye, kubanga wasaalira asaalira mukitundukye.
◘ Ebiseera ebimu ndaba abantu nga basaala swala ya Jama-a nebakutama nebavunnama bonna.
- Mazima bbo basaala swalazaabwe ezaabulijjo naye mujjama-a sibuli-omuyiye.
◘ Ngeriki gyetusaalamu swalayaffe mu-Jama-a?
- Singa bakungaana abantu babiri oba okusingawo kyokka nga omu-kubombi alina obubonero obu mukkirizisa okubeera imam waJama bakkirizi bwa okumukulembeza abasaalise Jama, bafu ne empeera eyenyongeza.
◘ Bwekiba bwekityo swala yaJama erimustahabbu?
- Yye era erina empeera-nnene naddala nga osaalidde mabega wamumanyi nabuli lwekweyongerako muwe ndo gwabantu nga nempeera yeyongerako.
◘ Obulombolombo bwa imam waJamaa bwe buliwa buli bwoyogeddeko mumboziyo?
- Imam wajama alina okuba mukulu, alina ama gezi simulalu, mukkiriza, mwenkanya tajeemera muleziwe asoma bulungi, okuzalibwakwe kwashariya, musajja singa amugoberera musajja.
◘ Tunamanya tutya nti ono musajja mukkiriza, mwe nkanya tusaalirer emabegawe?
- kimala okumulabira kubulungibwe kungulu.
◘ Abaffe imamu yetagisamu obulombolombo obulala?
- Yye- alina okubeera nga tateekebwangako kibonerezo kyamateeka (sharia) era alina kusaala nga ayimiridde singa amugoberera aba ayimiridde, era alina kwolekera eyo amugobere ra gyatunudde tekikkirizibwa eri oyo akakasa nti Qibla erimusaidi akulembere oyo amanyi nti Qibla erimusaidi ndala, era walaaye erina okubeera kusaidi yomugoberezi nga ntuufu, singa imam afuna wuzu namazzi amakyafu nga tamanyi bukyafu bwago atenga omugoberezi akimanyi awo takkirizibwa kubeera imamuwe.
◘ Nsaalantya esswalayange nga yaJama?
- olonda omuntu omutngole nga alina buushuru utu “obulombolombo obwa imamu-waJama obwogeddwako, noyimirira kuddyowe singa obeera omuwekka nga omuliiko emabega singa muba babiri oba bangi awatali kiziyiza.
Wakatiiwo naye nga ekisenge, era awatali kubeeranti ekifokye kisitufu okusingako ekikyo mukuyimirira kalombolombo okubanti tewa beerawo kabanga kanene wakatiiwo no’yo gwogoberera oba oyo akuli kulubiriizi.
◘ Bwekiba Bwekityo tugambe nti abasaala baleme kuleka wakati-waabwe kabanga kenkana mita oba okusingawo.
- Yye- era kimala omuntu asaala okukwatagana nemunne newankubadde kuludda lumu, kimala okukwata gana nomusaaze ku-imamuwe omusaaze kuddyoowe oba kukkonoowe, kimala okukwatagana nomukubo.
◘ Oluvanyuma lwekyo kiki ekiddawo?
- lmamu waJamaa bwatoola takibira nga atandika swalaaye nabamugo berera batoola takibira, bwasoma suula AL-Hamdu ne ssuula eddako abamu goberera bbo tebagisoma bwagisoma amalirabonna okusoma kwabwe imam yaba nomulimu gwokuba somera, bwakutama nga bakutama emabegawe, bwavvu nama nabo bavvu nama emabegawe, bwatuula batuula, nekisinga obulungi kubo kwekuleeta tasha hhudi oluvannyuma lwatashahhudiye, era neba toola salaamu oluvannyumalwe.
◘ Abaffe nsoma okujjukira ALLAH mukuvunnama kwange nemukukutama nemukuleeta tashahhudi,? yye abaffe mulaaka eyokusatu neyokuna nsomeramu Tasbiihat, oba nsirika nennyimirira kululwe?
- Soma nga bwobadde osomanga osaala obwomu, yogera ku-ALLAH nga okutamye nemukuvunnama ne mukuleeta eyokusatu neyokuna ezisembayo nga bwomanyidde okujjako okusoma essuula ebbiri zo azikusomera imamu, olvannyuma olina okumu goberera mubyonna.
◘ Kiki kyogenderera?
- Ngendereramu mukyo nti olina okugoberera imam waJamaa buli mukikolwa kyakola musswala, singa akutama kutama naye, vunnama naye, bwasitula omutwe okuva musuJuudi nawe ositula omutwegwo wamu naye, bwotyo tomukulembera mubikolwa ebyeswala.
◘ Ddi- lweneyunga ku-lmamu waJamaa?
- Omweyungako lmamu waJama nga ayimiridde oluva nnyuma lwokukubakwe takibiratul lhrami oba nga akutamye.
◘ Singa mweyungako nga asoma suula ebbiri sisoma suula zombi kubanga ye-azinsomera wo nga bwogambye, naye bwaba akutamye awo mmweyungako ntya?
- kuba takibira eyeswalayo oluvannyuma kutama direct okutuusa imam waJama lwamala okukuta makwe nayimirira, oyimirira naye.
◘ Ate okusoma kwange essuula ebbiri?
- Okuzisoma zombi kubakufudde singa omweyungako nga akutamye.
◘ Singa mmusanga nga ayimiridde mulaaka eyokusatu asoma tasbiihi mulaaka ebbiri ezisembayo?
- leeta takibira oluvannyuma soma suula bbiri muddo boozi eyekyama.
◘ Singa ekiseera tekinzikiriza kuzijjuza?
- Soma suula ya AL-Hamdu yokka.
◘ Kisoboka okweyunga ku-imam waJamaa nga asaala Asri kyokka nga nze nsaala zhuhuri?
- Yye, kikkirizibwa okweyunga kujama-a, newankubadde nga swalayo eyawukana neya lmam mukwatuza ne mukyama, oba mukujjuza nemukusalako, oba mukuli wa nemukutukiriza.
◘ Abaffe abakyala balina Jama-a nga abaami?
- yye, kikkirizibwa eri omukyala okusaala swala ya Jamaa emabega wo mwami-omusajja –oyo alina obu lombolombo bwa imamu waJamaa, obwayogeddwako, nga bwekikkirizibwa eri omukyala okufuula mukyala munne nga imamuwe, naye omukyala bwasaaza bakya la banne- kikakata ayimirire mulaini yabwe awatali kubakulembera-nga bwekiri ku-imamu wabasajja.
Naye abakyala bwebasaala nabaami kikakata kubo basaalire emabega wabasajja oba kulaini yabwe nayenga waliwo ekiziyiza okutabagana nga ekisenge.
◘ Eyo-yeswala yajama-a, wabula nze mpulira esswala eyitibwa swala ya Juma.... abaffe yyo-ndala kuzino zombuulidde?
- Yye, mazima yyo erimu laaka bbiri nga swalati ssubuhi, wabula Juma eyawukanako kubeeramu khutuba bbiri oluberyeberye mukiseera imam wayimirira nayogera muzo zombi ebisimisa ALLAH era nebigasa abantu.
Ekitono ennyo ekimukakatako mukhutuba esooka: kutendereza ALLAH- mululimi oluwarabu nakumwebaza! okukutira okutya ALLAH nasoma suula enyimpi muquru-an bwamala natuulamu katono asobole okuyimirira omulundi ogwoku biri mukhutuba eyokubiri:
Atendereza ALLAH, nasaalira kunnabbi muhammadi nekubantube nekuba imam babasiramu (A.S.) nekisinga obulungi kusabira bakkiriza abaami nabakyala ALLAH abasonyiwe (isitigfaari) ebyononobyabwe.
◘ Abaffe waliyo Bushuruutu obujikakasa?
- Kalombolombo mukukakata kwayo okuyingira ekiseera kya Dhuhuri, balina kukungana bantu bataano nga ne imamu wajamaa era imamu wayo alina okubanga alina bushuruutu “obulombolombo” bwetwayogeddeko okusooka mu imamu wajama.
Singa swala ya-Juma eyimirizibwawo mukitundu ekyakunganya obulombolombo bwabeera nga ajiyimi rizaawo ye imaam ma-asuumu oba oyo amumyuka kikakata kubasajja bonna abatuuze bokukyalo ekyo okujja bajisaale nga tewali buzibu bwankuba oba obunnyogovu obususse, nga balamu sibalwadde yadde obuzibe bwama’so okujjako omukadde omukulu oba omutambuze bajje bajisaale okuva ku (11) km mukugerageeranya.
Singa agiyimirizaawo siye imam ma-asuum era nga siyoyo amumyuka awo tebeera nkakafu kujijjamu awo kikkirizibwa okusaala swalaati zuhuri.
Singa omuntu asaala swaala swala yaJuma eri obushurutu “obulombolombo” bwonna era najisaala mujjamaa akoma kweyo nata saala swala yazuhuri.
Ekisigadde kulaza kunsonga bbiri:
1- mazima swala yaJuma nkakafu mukweronderako, singa omuntu afuna obulombolombo bwayo agisaala oba ssekyo asaala swalat-zuhuri nayenga Juma yesinga obulungi.
2- Kyetagisa okubeera nga wakati waazo zombi okuva kuJuma weri okutuuku kujuma endala gyeri nga wasukka ku (5) km mukugerageranya.
◘ Njagadde okkubuuza ekibuuzo naye kinkwasa ensonyi okukibuuza.
- Buuza kyoyagala MUDDIINI temuli nsonyi.
◘ Bwemba sisadde ezimu kusswala enkakafu kulwo tulo, oba bugayavu, kulwobutafaayo nobusiru, oba nga mbadde ngisadde nga nnyonoonefu nga nekiseera kiweddeko?
- Kikukakatako okuziriwa singa ebadde yalwatu nga eyasubuhi nemagaribi ne ISHA oziriwa mu lwatu, ate bweba yamukyama nga swala ya zuhuri ne Asri oziriwa muddoboozi eyomukyama bweba yakusalako oJiriwa mukusalako bweba yakujjuza ojjiriwa nga nzijuvu.
◘ Abaffe kisaana okuliwa zuhuri nga okukyuka kwenjuba kusembedde ate okuliwa ISHA nga ekiseera kya isha kisembedde nengeda bwentyo?
- Nedda wabula kisaanira okuliwa buliswala yonna gyoba osubiddwa, kaki beere nga ekiseera kyoku liwa kiro oba misana oyinza okuliwa subuhi olweggulo bwotyo.
◘ Bwemba simanyi swalammeka ezampitako, kati mba ndiwammeka?
- Saala zewekakasa muzo nti zikuyiseeko eranga tozisaalidde mukiseera kyazo, naye-ezo zobu usabuusamu mukuyita kwazo tezikakata kuziriwa.
◘ Nkubirayo ekyokulabirako.
- Bwokakasa nti tosadde swala yasubuhi okuva mumwezi gwarajabu oba olina okuliwa swala okumala omwezi mulamba eya subuhi.
Naye bwofunamu shakka “okubuusabuusa” nti obanlibwa oba tezikubanjibwa awo oba tokakasibwako kuzi riwa.
Ekyokulabirako ekirala : bwoba tomanyi nti tewa saala swala yasubuhi okumala omwezi mulamba oba ekiseera kiwanvu, no’beera nendowooza zami rundi ebiri: oba obanjibwa omwezi gumu, oba obanjibwa mwezi nennaku kkumi (10) mukiseera ekyo okkirizibwa okusaala omwezi gumu noko ma kwogwo awatali kwongerako.
◘ Abaffe kikakata okuliwa ezituyiseeko mangu awatali kukeerewa?
- Nedda, kikkirizibwa okukeerewa awatali kunyoo ma na kwesonyi wa nti tojja kuzisaala era nkukuu tira oliwe swala zonna ezakuyitako mulunaku olwo lwennyini mwezikuyitiddeko, bwoba tozukuse kusaala subuhi gezaako okuliwa subuhi nga zuhuri tennaba mulunaku olwo lwennyini oba oluvannyuma lwazuhuri zireme kukuzibuwalira ALLAH akukingirize okunyooma swala mukuziriwa akusobozese okuzituukirizamubiseera byazo-ebya zigererwa.
◘ Leka tuddeko emabega katono muntandikwa yokwogera kusswala eyasoose ogambye nga olimukubala swala zonna eziri-waajibu-enkakafu mubaddemu swala omuzadde gyeyaleka nebeera wajibu kumwanawe omukulu okujimuliwira singa taata teyagiriwa okutuusa lweyafa.
- Yye, kikakata kumwana omukulu okuliwa swala ya faradha singa omuzadde teyagisaala kulwekisonyiyisa oba teyagiriwa awamu nokuba nti yali asobola okugiriwa okutuusa lweyafa no’mwanawe omukulu natabeera mukendeevu muki seera weyafiira era nataziyizibwa mukumusikira akkirizibwa okupangisa omuntu yenna omulala agiriwe mukifokye.
◘ Wambuuliddeko kuswala ya-A’YAAT-.
- SAWLAT- A’YAAT- ekakata kubuli mukulu yenna awalirizibwa namateeka geddiina okujjako owahaizi (mp) ne-Nnifasi.
Mukiseera enjuba webikirwako oba omwezi oku bikkibwako newankubadde kitundu ne-musisi-nga ayita kisaana okugisaala buli kukitiisakyonna ekyomuttaka oba kunsi nga omusana okukwata enzikiza bwekiba kifunyisizza okutya eri abantu abasinga obungi, swala ya-A’YAAT- esaalibwa obwomu nga Khusuufu zombi bwezi saalibwa mu-Jama-a.
◘ Ddi swala ya-A’YAAT- lwesaalibwa?
- Nga enjuba nomwezi bibikiddwako muntandikwa yabyo okutuusa omwezi nenjuba lwebibikkulwa.
◘ Ate mu-musisi ne-ggulu nabuli kintu ekyawaggulu oba ekyawansi nga kitiisa?
- Esswala yabyo teriko kiseera kigere, wabula esaalibwa kulwabwokka bwakuzuukawo bintu ebyo okujjako nga ekiseera kigazi ekya A’ya awo esaalibwa nga ebbanga terinnaba kuggwaka.
◘ Ekyo kiri kitya?
- Oleeta takibira okusooka bwomala nosoma suula al-fatiha nozzaako suula ennamba endala bwomala nokutama, bwositula omutwegwo okuva mukukutama osoma al-fatiha omulundu omulala nessuula endala nzijuvu ogenda bwo tyo paka lwojjuza olukutama olwokutaano.
Bwositula omutwe okuluvaamu okkawansi obee renga ovunnama novunnama emirundi ebiri nga bwobadde ovvunama bulijjo musualazo.
Oluvannyuma nosituka oleete laaka eyokubiri era okola nga bwewakoze mweri eyasoose mubu jjuvu.
Bwomala noleeta Tashahhudi nokuba salamu bwotyo nojjuza swalayo, awo nekitegerekeka nti ebeeramu enkutama kkiumi naye nga laaka ziribbiri bbiri.
Neyo waliyo ekifananyi ekirala ekyeswala e’no tekyetagisa kukyogera kulwokuyita mubufunze.
◘ Singa enjuba oba omwezi bikwatibwa naye nessimanya kuzuuka kwabyo okutuusa lwebiggwa wo bulikimu nekiggwa nga sitegedde?
- Singa kusuufu ne khusuufu bibuna nebibika omwezi gwonna oba enjuba yonna awo olina okuliwa bwebiba tebibunyisizza nebiba byakitundu nga bikutteko kitundu kyamwezi oba kitundu kya njuba tekikukakatako kuliwa.
◘ Abaffe musisi neggulu?
- Bwewayitawo ekiseera ekikwatagana nokuzuuka kwabyo notasaala kulwensonga yonna swala eba efudde.
◘ Abaffe kikakata kunze okusaala swala ya-A’yaati singa kusuufu nekhusuufu bizuukawo mukifo kyonna wembeera munsi?
- Nedda, wabula ekakata kuggwe swala mukiseera kusuufu nekhusuufu webigwiira mukitundu-kyo nawaddirira kunsiiyo nga mwegatta mukuwulira singa aba agudde tekikakata kuggwe swala singa ekizuusi kigwa mukifo mubifo byensi ebikuli ewala.
◘ Wangambye: mazima swala eziri wajibu neziri mustahabbu notanyumikizaako kwezo eziri mustahabbu?
- Mazima zonyingi ekifo tekinganya kuzoogera wano, no’lwekyo ngenda kukoma kuzimu-muzo.
1-esswala yekikiro nekisinga kugisaala mu (1/3) ekisembayo mukiro oba kusaawa mwenda, nabuli lwebusemberera fajiri okuvaayo kyeki singa obulungi, nayo erimu laaka munaana omuntu asaala akuba salaamu buli kulaaka bbiri muzo nga swala yasubuhi, bwamala ekyo, na’saala SHFA-E erimu laaka bbiri, bwamala nasaala witiri yalaaka emu wonna zelaaka kumine’mu (11).
◘ Njigiriza ngeriki eyokusaalamu witiri nga nayo yalaaka emu?
- Kuba takibira okusooka oluvanyuma osome AL-hamudu kyagalwa okusoma oluvannyuma lwayo suula yatawuhiidi emirundi esatu ate nesuula ebbiri Nnansi ne FALAQ, oluvannyuma nositula emikonogyo kulwe-DU’A- nosaba kyoyagala.
Ate kirimustahabbu kuggwe okukaaba kulwo kutya ALLAH, era osabire abakkiriza (40) ALLAH abasasire noyogera amannyagaabwe, era ogambe emirundi (70) ASTAGFIRULLAH- RABBI WA- ATUUBU- LLAIHI ate ogambe emirundi (7) “HAZA MAQAMUL- AEDHI BIKA MINANNARI” ate emirundi (300) (AL-AFUWU) bwomala kutama ovunname nga bwobadde okuta ma novvunama muswalazo ezabulijjo bwomala leeta tashahhudi okube salaamu.
Oyinza okukoma ku-shafu-e ne-witiri emu kuzombi, wabula kimala witiri yokka naddala nga ekiseera kifunda.
◘ Obulungi bwaswala esaalibwa ekiro bwebuliwa?
- Swala yekiro erina ebirungi bingi era binene, imam SWADIQ (A.S) yagamba: Nabbi (S.AW) yagamba mukula mira ALI (A): “olina okwenywereza kuswala eyekiro olina okusaala ekiro, olina okusaala ekiro”
Ate byava ku-Nnabi (SAW): “swala eyalaaka bbiri wakati mukiro yesinga okwagalwa gyendi okusinga Dunia nebijirimu” ate byava ku-imam ABi- ABDILLAH (A.S): mazima yamujjira omusajja namusindira kukyetaago kye nayitiriza mukusinda okutuusa lweyasemberera okusinda enjala, Abu-Abdillah namugamba: “owange ggwe osaala ekiro”? omusajja naddamu nti yye, Abu-abdillah natunula kumunne nagamba:
“Alimbye oyo akakasa nti assala ekiro ate nalumwa enjala emisana: mazima ALLAH owekitii bwa yeyimirira neswala yekiro ekyokulya kyemi sana”.
2- Swalatul- wahshwa – ekiwubaalo – oba obudde bwokuziika: ekiseera mwesalirwa obudde obuso oka mukuziika musaawa yonna gyoyagala muzo, nayo yalaaka bbiri osomera mwesooka olu vannyuma lwa-AL-HAmdu – Ayatul kurisiyyu oku tuusa kukigambo: “HUMU FIIHA KHALIDUUNA” nosomera mulaaka eyokubiri oluvannyumalwa al-hamdu suula ya al-Qadri emirundi kumi(10) ate oluvannyuma lwa tashahhudi nesalamu ogamba: “ALLAHUMMA SWALLI ALA muhammadi wa- AL- MUHAMMADI WABU- ATH- THAWABUHA ILA Qab uri FulaN” noyogera omufu erinnyalye.
Ne’yo waliyo engeri endala yokusaalira mu swala e’no genda mubitabo byafiQuhu bwoba nga oyagala okujitegeera.
3- SWALAT GAFIILA: nayo laaka biri wakati wa magaribi ne isha, osomera mulaaka esooka oluvannyuma lwa-al-hamdu- Ayatul kursiiyyu:
“WA-ZANNUUNI IZ-ZAHABA MUGADHIBA FADHANNA AN- LAN- NAQDIRA ALAIHI FANADA FII-ZULUMAA TI AN-LAA-JLAHA JLLA-ANTA SUBHANAKA INNI KUNTU MINAZZWALIMIINA@ FASTAJABNA LAHU WA NAJJAINAHU MINAL- GAMMI WAKAZALIKA NU- NJIL- MOUMINIINA”.
Nosomera mulaaka eyokubiri oluvannyuma lwa al-hamdu a’ya eye ekitiibwa:
“WAJENDAHU MAFATIIHIL- GAIBI LAYA- ALAMUHA ILLA HUWA WAYA-ALAMU MAFI- L-BARRI WAL-BAHRI WAMA TASQUTU MINI WARAQAT ILLA YA-ALAMHA WALA HABBATI FIZULUMAATIL- ARUDHI WALA RATBI WALA YA-ABISI ILLA FIKITAABIN-MUBIINI”.
Oluvanyuma nositula emikonogyo muDdu’A nogamba: “ALLAHUMMA INNI AS-ALUKA BIMAFATIHIL GAIBI ALLATII LAYA- ALAMUHA ILLAH ANTA ANTU SWALLI ALA MUHAMMADI WA-A’L MUHAMMADI WA-ANTAFU-ALA BEE KAZA WAKAZA” awo noyogera ekyetagokyo bwomala nogamba:
“ALLAHUMMA ANTA WALIYYU NI-AMATI WAL-QADRU ALATWALABATI TA-ALAMU HAJATI FA-AS-ALUKA BIHAQQI MUHAMMADI WA-A’L-MUHAMMADI WA-A’LIHI ALAIHI WA-ALAIHIMU SSALAMU LAMMA QADHAITAHALI” oluvannyuma nosaba ekyetago kyo mazima kimali bwa nokwagala kwa- ALLAH.
4- Swala eyomulunaku olusooka buli mumwezi: nayo erimu laakabbiri osomera mulaaka esooka oluvannyuma lwa al-hamdu suula yatawuheedi emirundi (30), bwomala nosaddaaka ekikwanguyira mulaaka eyokubiri osomeramu suula al-Qadri emirundi (30), nga ogula nekyosadda’ka obulamu bwomubiri kirimustahabbu okusoma ezimu ku-AYAAT zaQur,an ezeyawulidde oluvanyuma lwayo.
5- Swala ya imam Ali (A): erimu laaka nnya osaalabbiri- bbiri nga bwosaala subuhi osomera buli mulaaka suula ya AL-hamdu omulundi (1) ne-suula yatawuheedi emirundi (50) ataano imam Ali (A) agamba: “omuntu bwasaala laaka nnya nga asomera buli mulaaka “Qul HUWALLAH AHADU” emirundi ataano (50) tewasigalawo lutambi lwabyonono wakatiiwe newakati wa-ALLAH.
6- Swala eyokwanguya esonga enzibu:
Erimu laaka bbiri, imam Abu-Abdillah (A.S) yagamba “ singa ensonga ekuzibuwalako saala laaka bbiri osomera mwesooka suula ya al-fatiha ne “Qol HUWALLAH AHADU” ne “INNA FATAHNA” okutuusa kukigambo: “WAYANSURUKALLAHU NASURAN- AZIIZA” ate mulaaka eyokubiri AL-fatiha ne “QOL HUWALLAH AHADU” ne “ALAM-NASHIRAHA LAKA SWADRAKA”.