back

OKWOGERA KUBANDEEGI

next

 

 

Nagamba taata wange – nga saawa yokwo  gera etu­use: Jjo wambuuliidde kubandeeji newesigamiza embozi ekwata kujabiira nga yakwogerwako lwalero.

- Yye, bwoba oteese kukiwundu oba ekizimba oba awamenyese, essuuka oba ekizingirira oba ekikifanana awo obeera okoze JABIIRA bandeegi.

q Otegedde ekiwundu nokumenyeka naye QURUHU kyekki?

Quruhu byebizimba ebibeera mumubiri oba kumubiri.

q Naye Nnaaba ntya oba ntawaza ntya oba ntayam­mama ntya nga ate waliwo bandeegi?

Bwekikusobokera okujjawo bandeegi awatali kukose­bwa oba buzibubwonna oyinza okujijja wo, onaabe oba siiga wansiwayo ekyo ekikuka katako okukinaaba oba okusiiga buli kimu nga bwekigenda.

q Bwekiba tekisobose kujjawo bandeegi kulwoku­kosebwa oba obuzibu?

Naaba kumabbali gabandeegi awo awaba bandeegi yenyini kungulu yayo mukifo kyekitu ndu kiri ekibiikid­dwa nebandeegi sinsonga oba kibeera awo awanazibwa nga bandeegi tennabeerawo okugeza nga kumukono oba awo awasiigibwa obusiigibwa okugeza nga kukugulu.

 

GENDERERA BINO EBIJJA:

-1 Kungulu kwabandegi eri gyosiimulako nomuko­nogwo omubolu kubeera nga kutukuvu buli obukyafu obuli munda mwa bandeegi obukwata kukiwundu tebu­kikwatako.

2- Bandeegi erina okubanga sinnyage bunyazi.

3- Ekigero kyabandeegi kirina okubeera nga kimany­ikiddwa ekyabulijjo okusinziira kukigero kyekiwundu oba okumenyeka.

q Singa ekigero kyabandeegi kiba kinene okusingako ekigero kyekiwundu?

Awokyokola kujjako kiwero kiri ekyanyongeza bwo­mala nonaaba ebiri wansi waayo oba siimuulawo bu­likimu nga bwekyetagisa.

q Bwekiba tekinsobokedde kujijjawo oba singa mu­beeramu obuzibu mukifo wenyini awali bandeegi?

ToJijjaawo, beera nga otawaza ate osiige kubandeegi.

q Singa okujjawo ekitundu ekyeyongeddeko mulimu obuzibu oba kiyinza okukosa ekifo ekiramu okuleka ekirwadde.

Beera nga otayammama mukifo kya-wuzu singa ban­deegi tebeera mukifo kyatayammamu naye bwekitaba bwekityo, oyinza okugatta byombi wuzu no-okutayam­mama.

q Singa bandeegi ebunyisa ekyenyikyange kyonna oba ogumu kumukono gwange oba okugulu kati awo nkola ntya okufuna wuzu?

Otawaaza era nosiiga kubandeegi.

q Singa ebunyisa ebiyungo byonna oba ebisinga obu­kulu?

Gatta wakati wokufuna wuzu wamu nokusiiga kuban­deegi newakati wokusaaba enfufu.

q Singa mukyenyi kyange oba kumukonogwa nge mu­beeramu ekiwundu oba ekizimba nayenga tekuli bandeegi ebisseeko awamu nekyo omusawo angaanye okuyuwawo amazzi kati mfuna ntya wuzu?

Naaba kumabbali gayo oleke okunaaba ekifo ekirimu ekiwundu.

q Singa mukyenyi oba kumukono kubeera ko obu­menyefu nayenga tekuli kibikka ate amazzi gakikosa nayenga temuli kiwundu kati awo ntawaza ntya?

Beera nga oJJulukuka okuva mukufuna-wuzu odde mukutayammama.

q Singa ekiwundu ekikosebwa naamazzi ekitali kibikke kyako, kibeera mubifo ebisiigibwa, okugeza nga bwekinabeera mumutwe oba kukugulu kati awo nsiigan­tya mu-wuzu?

Julukuka odde mukusaaba enfufu.

q Bwemba njagadde okunaaba, nayenga kumubirig­wange kuliko ekiwundu oba ekizimba nga kibikkule?

Leka okunaaba ekiwundu oba ekizimba onaabe kumabbali gakyo, oba seekyo oyinza okudda mukusaaba enfufu, olina okweronde rawo munsonga- eyo.

q Bwembeera nobumenyefu kumubiri gwange kati awo Nnaaba ntya?

Beera nga otayammama mukifo kyokunaaba.

 

 

Index